Katayira wa Bukedde, MC Maswanku alumbye Buloba
Aug 04, 2023
MC Maswanku Katayira wa Bukedde adduukiride bakyali be aba bodaboda n’abayiwamu obujaketi bw'okwambala nga bavuga pikipiki zaabwe buyite 'reflector'.

NewVision Reporter
@NewVision
MC Maswanku Katayira wa Bukedde adduukiride bakyali be aba bodaboda n’abayiwamu obujaketi bw'okwambala nga bavuga pikipiki zaabwe buyite 'reflector'.
Aba bodaboda bano abasoba mu 100 obujaketi yabubaweeredde Busega ng’obwedda abasanga ku siteegi ez’enjawulo ng’ali wamu ne banne aba tiimu MC Maswanku.
Maswanku Nga Yeekubisa Ekifaananyi N'abaana Ba Bbooda.
Mwana mulenzi Maswanku abangi gwe baakazaako erya Kabaka w’Omuzindaalo yaakamala emyaka etaano ng'akola ku mikutu gya vision Group okuli Bukedde Ffama Embuutikizi, Bukedde TV n'emirala era ng'akola nga Katayira wa Bukedde mw’atuukirira ku bantu mu bitundu eby'enjawulo n'abagatta butereevu ku Bukedde.
Yakola n'Ekibooziboozi kya bodaboda ku Bukedde TV1 mu pulogulaamu y'Ekyenkya gy’abeerera ku luguudo ng’awayaamu n’abaana ba bodaboda ku nsonga ezikwata ku mulimu gwabwe ez’enjawulo.
Wano Nga Balwana Buli Omu Okufuna Obujaketi.
Maswanku agamba nti Vision Group emukozeemu omulimu ogumufudde omusajja owa maanyi era wano we yasinzidde n’ategeka ekivvulu kye yatuumye The Best of MC Maswanku ku Muzindaalo ,Olwomukaaga olujja nga August 12, 2023 ku Danna Park e Buloba .
Awerekeddwako Bannamasaka banne okuli ba ssaabanyaanyanyaanya Suuna Ben ne Mbaziira Tonny okwo gattako mikwano gye bannakatemba n’abayimbi bangi byonna ku 10,000/=.
Aba Bodaboda Nga Banekaanekanye Mu Bujaketi.
No Comment