Anaasinga 'okusimba akagere' mu kivvulu kya Maswanku waakuwangula ekyapa
Aug 11, 2023
MC Maswanku Katayira wa Bukedde asitudde edongo ssatu okuli Karitasi sound, JJ Sound ne Smart Sound naazikuba ku Danna Park e Buloba

NewVision Reporter
@NewVision
MC Maswanku Katayira wa Bukedde asitudde edongo ssatu okuli Karitasi sound, JJ Sound ne Smart Sound naazikuba ku Danna Park e Buloba w’ategekedde ekivvulu kye ekya The Best of MC Maswanku ku muzindaalo.
Ekifo agenda kukyabuluzaamu n’okubuuutula kw’endongo. Enteekateeka zonna ziggyiddwako engalo ng’ekkivulu kya Lwamukaaga enkya era emiryango giggulwawo misana okuyingira kwa 10,000/-.
Maswanku Ng'annyonnyola.
Maswanku yasinzidde mu lukung’aana lwa bannamawulire olwategekeddwa ku kifo kino eggulo n’ategeeza nti okwawukanako n’ebivvulu ebirala ebizze bibaawo, kino amaanyi agatadde nnyo ku kyuma ekigenda okusindogoma era n’awa amagezi buli muyimbi anaayimba okukeerako kubanga abantu ayagala abawe ddoozi y’endongo emala.
Ekivvulu kya Maswanku kitegekeddwa Joel Lwanga owa Joel Promotions ne kiwagirwa Bukedde Leediyo Embuutikizi n’emikutu gya Vision Group emirala, Danna Events, Gold Amar Cream liqueur, Zoenah Zai Skin Beauty Center, Century Property consultan nga bano baataddewo ekyapa eky’okuwangula eri omuntu anaasinga okusimba obugere mu ttaka ku ndongo y’ebinyaanyanyaanya.
Maswanku akulembeddwamu ba ssaabanyaanyanyaanya, Suna Ben ne Mbaziira Tonny nga wano Mbaziira we yasinzidde n’akunga abantu okukwata obudde kisobozese okufuna ekiseera ekimala eky’okusandabula endongo y’ebinyaanyanyaanya kakundiiru.
No Comment