Ssanyu : MC Maswanku ammalako situleesi

Aug 11, 2023

Ssanyu: Sabrina Sylvia akubuuzaako akubuuzaako.

NewVision Reporter
@NewVision

OMULUNGI nsaba kukubuuzaako ku kkubo eridda mu Nyendo?

Kwata liri erya koolaasi.
Omukyala ow’ekisa gwe njogera naye, y’ani erinnya?

Nze Sabrina Sylvia

Beddira ki abo?

N’ery’ekika olyagala?

Anti Kabaka yatulagidde tusoosowaze emiziro gyaffe.

Ky’oba omanya neddira Ngeye.

Muno mu Masaka mw’obeera oba oli mugenyi nga nze ?

Mwe mbeera era mwe nzaalwa.

Okoleramu mulimu?

Mpereeza byamizannyo ku leediyo emu.

Nange gye mpangaalira eyo ku Bukedde, mmanyiyo bangi abava eno.

Obwedda njogera na wa Bukedde nga simanyi! Nsanyuse okukulaba

Nange nsanyuse okukusanga.

 

Kati bwe naaba nzizeeyo ku Bukedde, nkulabireyo ani?

Ndabira nnyo MC Maswanku, Katayira wa Bukedde, by’akola binkolera.

Mmugambe ki ekirala?

Nti twegweko mu kivvulu kye ekya The Best of MC Maswanku ku Muzindaalo ku Lwomukaaga.

Naye abaana b’e Masaka temutudde?

Twatondebwa kulumya balala mitwe anti.

Ng’oggyeeko ebyemizannyo biki ebirala ebisinga okukunyumira?

Endongo y’abaana b’eka; Ssuuna Ben ne Mbaziira Tonny ey’ebinyaanyanyaanya gye batabula enkolera era y’ensonga endala lwaki ngenda kubasalako mu bitiibwa ewa Maswanku.

Nze ekigenda okundeeta kuddamu kukulabako tuwayeemu?

Era okeerako kuba nze ngenda okwaniriza abagenyi ate ggwe nja kukuwaamu
ka ‘hug’ ak’ensusso.

Ye ng’oyogeza kiraavulaavu oli mu mukwano?

Nedda siguliimu, empewo y’enkozesa ebyo.

Kati ogw’okukubugumya gumpeere ddala lumu ngukole?

Bya siriyaasi omponye obw’omu!!

Byakulya ki ebisinga okukuwoomera bye mba nkuleetera lwe
tunaddamu okusisinkana?

Akammonde n’enkonko binkolera.
Kagambo ki akasembayo k’osuula Bannamasaka?

Omwana wa Bukedde, MC Maswanku azze n’ettu erinaatumalako situleesi ku Lwomukaaga e Buloba.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});