Pius Mayanja amanyiddwa nga Pallaso mu kisaawe ky’okuyimba, yakuzizza amazaalibwa ge ag’emyaka 36 ku mukolo ogwabadde mu bbaala ya Vegas Chillout Bar and Lounge e Kawempe.
Omukolo guno gwagasse abayimbi abamanyiddwa abawerako okuli Jowy Landa, Green Daddy, Evelyn MC, Mimi (mukyala wa Pallaso), wamu ne baganda be nabo abayimbi Jose Chameleone ne Weasel eyazze ne mukyala we Sandra Teta.
“Pallaso, ka mbuulire bino, wadde nga ndi mukulu wo ate era ndi muyimbi, naye njagala nnyo myusiki wo, nkwegomba. Gwe muyimbi asinga mu Uganda. Osaana kuwaanibwa kuba myusiki wo ali origino wa ddala. Ennyimba zo omuli; Ani Oyo, Malamu n’ennyimba endala nnungi nnyo era zamaanyi,” Chameleone bwe yategeezezza.