Kwepena Festival ezuukusizza emizannyo gy'omu buto abaginyumirwa ne batiguka!
Sep 18, 2023
Gino kwabaddeko Dduulu, Omweso, Okubuukira mu bukutiya, okubuuka omuguwa, okwepena n’emirala mingi.

NewVision Reporter
@NewVision
Abavubuka bejjukanyiza emizaanyo gy’omu buto ne batendereza obuyiiya bwa bantu abasooka okugiyiiya.
Nga Bazannya Kapa Egoba Emmese.
Ssande ey'eggulo abavubuka baagenze ku Legends Rugby grounds awaabadde wategekeddwa Kwepena Festival ng’eno waabaddewo kyenkana buli kika kya muzaanyo abantu gye baazannyanga mu buto.
Gino kwabaddeko Dduulu, Omweso, Okubuukira mu bukutiya, okubuuka omuguwa, okwepena n’emirala mingi.
Banyumiddwa Nnyo Dduulu.
Ddulu yakutte bangi omubabiro naddala abasajja abaabadde bakaayaana okukamala olw’abo abaabadde tebajjukira mateeka ga muzaanyo kyokka nga bagwagala okukamala.
Emirala nga 'Kappa egoba emmese' nagwo gwasanyudde bangi anti mu gwo abalenzi baabadde balina okugoba abavubuka okubaleeta wakati w'enkulungo (circle) newankubadde nga baabade balemesebwa abantu abalala.
Baabadde beepena.
Abategesi b’ekivvulu kino bagamba nti ekyabatandisawo ekintu kino kwe kwagala okukuuma obuwangwa mu mizannyo gino kw'ossa n’okuyambako abantu abamu okutuyanamu kubanga bamala ebbanga ddene nga tebadduseemu.
Akawungeezi baakubiddwa omuziki okuva eri ba Dj ab’enjawulo nga n'abo abataasobodde kwetaba mu mizannyo waakiri baafunye engeri endala gye banyumirwamu.
Kubukira Mu Kkutiya.
No Comment