Sirina buzibu bwonna na Bobi Wine - David Lutalo

Oct 18, 2023

Ku wiikendi, omuyimbi David Lutaalo yayasanguzza nga bw’awakanya ne ssekuwakanya ebyobufuzi eby’obukyayi n’okusosola mu mawanga ng’ali mu kivvulu ekimu e Mbarara.

NewVision Reporter
@NewVision

Ku wiikendi, omuyimbi David Lutaalo yayasanguzza nga bw’awakanya ne ssekuwakanya ebyobufuzi eby’obukyayi n’okusosola mu mawanga ng’ali mu kivvulu ekimu e Mbarara.

Kino bangi baakitapuse kifuulannenge nga balowooza akoona butereevu Bobi Wine omukulembeze wa NUP, gye buvuddeko azze alumiriza bannabyabufuzi ba gavumenti ku kuboola mu mawanga.

Lutaalo wabula yatangaazizza nti talina nsonga yonna gy’akuuma n’ab’oludda oluvuganya mu Uganda n'agamba nti tayinza kuvumirira Bobi Wine, kuba bombi bayimbi era bagabana obubaka obw’obumu.

"Nnali nnyimba oluyimba lwe nnafulumya emyaka egisukka mu kkumi egiyise. Kale njagala mwenna mukimanye nti sirina buzibu na bantu ba Opposition mu ggwanga. Mu butuufu ndowooza tubuulira obubaka bwe bumu obw'obumu," Lutalo bwe yategeezezza.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});