Omuyimbi Eezzy ne mukyala we bafiiriddwa bbebi

Omuyimbi Opoka Eric amanyiddwa nga Eezzy ne mukyala we Kimberly bafiiriddwa omwana waabwe omulenzi Omara Seth Arwota abadde yaakazaalibwa. 

Omuyimbi Eezzy ne mukyala we bafiiriddwa bbebi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Kimberly #Eezzey #Opoka Eric

Omuyimbi Opoka Eric amanyiddwa nga Eezzy ne mukyala we Kimberly bafiiriddwa omwana waabwe omulenzi Omara Seth Arwota abadde yaakazaalibwa. 

Abafumbo bano baali basanyufu nnyo Kimberly bwe yazaala omwana waabwe asooka nga October 1, 2023. Kyokka, essanyu libadde lya kiyita mu luggya omwana bw'abafuddeko mu ngeri y'ekikangabwa!

Eezzy yafulumizza amawulire ag’ennaku ag’okufa kwa mutabani we ku mikutu gya yintaneeti, n’asaba obuwagizi n’okusaba kw’abawagizi be n’abaagaliza ebirungi nga batandika olugendo lwabwe lw’okuyita mu kusoomoozebwa n'okugezesebwa kuno okulaba nga badda engulu.