Bondia akyalebya banne mu kalulu ka Guild president wa Kyambogo University

TIMOTHY Jakisa Bondia omuyizi okuva ku Kyambogo University musanyufu byansusso oluvannyuma alizaati okuvaayo nga ziraga nti akyaleebya banne n'ebitundu 70.

Bondia akyalebya banne mu kalulu ka Guild president wa Kyambogo University
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Kyambogo University #Guild president #Timothy Jakisa Bondia

TIMOTHY Jakisa Bondia omuyizi okuva ku Kyambogo University musanyufu byansusso oluvannyuma lwa alizaati okuvaayo nga ziraga nti akyaleebya banne n'ebitundu 70.

Ono yeesimbyewo eyeesimbyewo ku bwannamunigina ku bukulembeze bwa University eno (Guild President) era avuganya ne banne okuli; Ronald Katumwa nga yayise mu kibiina kya NUP wadde nga tebaamuwadde kkaadi, Samuel Nakayenga ye yakwatidde NUP bbendera, Reagan Mwebesa nga yayise mu kibiina kya UYD (DP) wamu ne Andrew Oluda ali ku ludda lwa UPC.

Bondia eyeeyambisa langi eyakiragala musanyu era asabye abawagizi be babe bakkakkamu kuba obuwanguzi bubali mu ttaano.

Asuubizza abayizi ebintu bingi okuli emmere ey'ebisale ebyawansiko, wamu n'abayizi abasomera ku nkola y'okuyambibwako Gavumenti okuweebwa emmere ennungi mu kifo kya ssente.

Bondia era agamba ye atunuulidde nnyo okukyusa obulamu bw'omuyizi ku yunivasite asobole okusoma nga musanyufu era n'akakasa bayizi banne okusuubira obufuzi obutaliimu kyekubira.