Emirimu bassereebu abaagenda ku kyeyo gye bakola ; Mujuuka akola mu ddwaliro

Nov 05, 2023

Abantu bangi okuli ne bassereebu bwe batuuka mu nsi zino beeyambula ebitiibwa byabwe ne batunuulira kimu kya kunoonya ssente ekituusa n’abamu ababalaba okutandika okuboogerera. 

NewVision Reporter
@NewVision

Abantu bangi okuli ne bassereebu bwe batuuka mu nsi zino beeyambula ebitiibwa byabwe ne batunuulira kimu kya kunoonya ssente ekituusa n’abamu ababalaba okutandika okuboogerera. 

Mu Uganda ginyoomebwa kyokka ku kyeyo girimu ssente empya n’enkadde. Ekyeyo abasinga balowooza nti kubeera kwera makubo kyokka eyo gye byava kati abantu bakola ne mu ofiisi ez’amaanyi naye nga nakyo kyeyo. Kati ekyeyo kiyite omuntu akukolera mu nsi etali yiye gye bamuyita omugwira. 

Mujuuka yagenda dda.

Mujuuka yagenda dda.

Tukuleetedde Bannayuganda bassereebu n'emirimu gye bakola nga batuuse mu America ne Canada; 

Patriko Mujuuka; Yavuganyaako ku kifo ky’omubaka wa Nakifuma mu 2021, era omukozi ku CBS mu kiseera kino ali mu America mu ssaza lya Arizona gye yasisinkana munywanyi we Grace Ssekamatte
eyamusomera ddiiru y’okubudaabuda abantu egambibwa okuba ng’esasula kiralu. Ensonda zaategeezezza nti kuno agattako ogw’okuvuga ttakisi n’okukola obwa MC ku mikolo egitali gimu.

Mujuuka yagenda ku ntandikwa ya September mu lukung'aana lwa Bannayuganda mu America era yatuukira mu kivvulu kya Geofrey Lutaaya mu Arizona. Omulimu gw’okubudaabuda abantu, gwe gumu kugisinga okusasula obulungi mu America.

Wyclif Luyombya; Yali akola ku CBS ali mu Boston era emirimu agikola nga bwe gizze tasosola kasita abeera ng’anaafuna ssente ng’era ne banne bwe bakola.

Babirye naye muyimbi.

Babirye naye muyimbi.

Flavia Namulindwa ne Isaac Kays Kawalya; bali California nga balina omukutu gw’ebyamawulire ogwa Diaspora connect n’emirimu emirala gye bakola. Kawalya agambibwa nti alina ekirabo ky’emmere
mw’akola ate Namulindwa kuno agattako okusomesa abantu enkwata ya ssente (Financial Literacy).

Naila Ali;  ali mu California ,yali muyimbi era mu Amerika akyayimba kyokka agattako ogw’obudaabuda abantu.

Ibra K Mukasa: Ali Canada essaza ettuufu waali n’omulimu gw’akolayo tebimanyiddwa bulungi. Yagenda mu August wa Mwaka guno.

Judith Babirye: Muyimbi era musumba yali mubaka omukazi owa disitulikiti y’e Buikwe bwe yafuna obutakkaanya ne bba n’agenda e Canada kati gy’ali era abuulira njiri kw’agatta n’okuyimba.

Mc Kapale Naye Yagenda.

Mc Kapale Naye Yagenda.

 Selector Williams: Yali akola ku leediyo Sapientia era yali yeekoledde erinnya mu kutunuulira ensonga z’abayimbi mu Uganda ne bannabitone kati ali California mu America ng’akola emirimu egyenjawulo okuli n’ogw’okulabirira abakadde.

Bashir Kawuki amanyiddwa nga MC Kapale: Yagenda mu America mu UNAA era yasinziira ku mikutu emigatta bantu n’alangirira nga bw’atagenda kudda Nansana kubonaabona. Omulimu omutuufu gw’akola tegumanyiddwa okuggyako nti alina Omuzungu gwe yaganza n’amuwasa.

Mark Kiyingi amanyiddwa nga Dictator Mark: Munnamawulire eyali akola ku CBS. Tamanyiddwa bulungi nsi mwali kyokka waliwo abalowooza nti ali Bufalansa, abalala nti ali Bungereza ate abandi nti America mu ssaza lya Arizona kyokka omulimu omutuufu gw’akolayo tegunnamanyika.

Denis Katongole (Katongole omutongole): Yakolako ku mikutu gy’amawulire egy'enjawulo mu Uganda era yavuganyaako ne ku kifo ky’omubaka w'e Bbaale gy’azaalwa bwe byagaana yagenda mu America nga mu kiseera kino ali Boston gy’akola obwa MC.  Yasoma n’obusawo era alabirira bantu.

Katongole Omutongole.

Katongole Omutongole.

 Elemia Masemba amanyiddwa ng’omubi Masembe: Kkansala mu Makindye West kyokka yagenda mu America era akola gwa kwoza masowaani mu kirabo ekimu e Boston. 

Messe Bontwe: Munnakatemba eyakolanga ne Amooti ng’akola ne ku leediyo ya Super ali Arizona mu America.

Ragga Ben: Ali mu America alina edduuka erimu ly’akolamu ogw’okutunda engoye.

Kapalaga Baibe: Ali Boston Massachusetts akola gwakusomesa bantu byanfuna na nkwata ya ssente.Yali munnamawulire ng’akola ne leediyo Ssimba wano.

Kawalya Kayz33

Kawalya Kayz33

Remmy Bahati: Ali mu kibuga Newyork ekya America gy’akola nga munnamwulire era omunoonyereza ku nsonga ez’enjawulo. Yali munnamawulire wa NBS Tv.

Karitas Kario: Muyimbi mu kiseera kino ali Boston. Ono akyayimba n’okuzannya katemba.

Ronald Mayinja ali UK gye yagenda okuyiiyiza obulamu oluvannyuma lw’okukizuula nti eby’okuyimba byali tebikyamugendara bulungi olw’okubiyingizaamu ebyobufuzi. 

William Ntege amanyiddwa nga Kyuma Kya Yesu: Ali Canada yagendera mu muyaga gw’ebyobufuzi oluvannyuma lw’okukwatibwa n’aggalirwa olw’okuwagira NUP
omulimu omutuufu gw'akola etumanyiddwa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});