DJ Slick Stuart ne Roja baawukanye nga baabigwo

DJ Slick Stuart ne DJ Roja, abamazev ebbanga nga bakola bonna, baawukanye.

Roja ne Stuart
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#DJ Roja #Jowy Landa #DJ Slick Stuart

DJ Slick Stuart ne DJ Roja, abamazev ebbanga nga bakola bonna, baawukanye.

Mu bbanga lye bamaze bonna, bawanguliddemu engule n’okukola ebivvulu ebimanyidwa nga ‘Mix Tape Parte’ buli mwaka.

Ensangi zino, buli omu alabika akola bibye era kati osobola okupangisaako omu ku lulwe ekitabaddeewo luli, ng’okukukubira omuziki, balina kubeera bombi.

Slick Stuart yaddayo okusoma era yeebuuzibwako abayimbi ku bikwatagana n’omutindo gw’ennyimba zaabwe.

DJ Roja yafuuka maneja wa Jowy Landa.