Nina Roz ayawukanye ne maneja we, birimu okubulankanya ensimbi ze
Dec 06, 2023
NINA Roza teyeetekera bamaneja batatuusa ttu lye! W’osomera bino, ng’ayawukanye ne maneja we abadde amukwasaganyiza ebya myuziki era kigambibwa mulimu okubulankanya ensimbi ze.
By Musa Ssemwanga
Journalist @New Vision
NINA Roza teyeetekera bamaneja batatuusa ttu lye! W’osomera bino, ng’ayawukanye ne maneja we abadde amukwasaganyiza ebya myuziki era kigambibwa mulimu okubulankanya ensimbi ze.
Mbu, Nina Roz yalangibwa okuyimba mu bivvulu ebyali e Masaka n’e Luweero kyokka teyalin- nyayo nga kigambibwa nti maneja ono, yakwata ssente okuva mu bategesi baabyo kyokka n’atakombya ku Nina Roz wadde ekikumi.
Kino kyatabudde Nina Roz n’asalawo baawu- kane nga bw’anoonya maneja omulala.
Nina Roz era yaliko mu kibiina kya Jeff Kiwa ekya TNS ne baawukana
Related Articles
No Comment