CINDY, Jackie ne Lillian nga bano bayimbi abaali beegattira mu kibiina kya Blu3, baakoze ekivvulu ne bayimbira abadigize ne babalekamu ne ‘looko’.

Jackie (ku Kkono), Cindy Ne Lilian Nga Bayimba Ku Siteegi.
Baalaze omutindo nga kyabadde kizibu okukyefumiitiriza nti baabadde bamaze emyaka 15 nga tebayimbira wamu kuba ennyimba zonna baabadde bazikuba budinda. Mu banyumiddwa mwe mwabadde n’omuyimbi Sheebah Karungi eyawanise n’akagalo.