Ekimpalanya Alien Skin lwakuba yansaba 'kolabo' ne ng'aana - Fik Gaza

Jan 29, 2024

Omuyimbi wa Dancehall Fik Gaza aggudde olutalo ne Alien Skin wa Fangone Forest.

NewVision Reporter
@NewVision

Omuyimbi wa Dancehall Fik Gaza aggudde olutalo ne Alien Skin wa Fangone Forest.

Gaza, gye buvuddeko eyafuna omukisa okukola kolabo n'Omujamaica Koshens wamu ne Chameleon, yategeezezza nti yagaana  okuwa Alien Skin omukisa okukola okukola 'kolabo' era we waava obuzibu.

Yannyonnyodde nti Alien Skin yamwegayiridde bakole oluyimba bombiriri oluvannyuma lw'okulaba oluyimba lwa Banana Remix' lwe baakutte ne Chameleon ne Konshens nga lukikuba.

"Nnamusaba kolabo nga ntandise, n'agaana. Yakomawo gyendi ng'asabiriza kolabo oluvannyuma lw'okulaba nga nkikuba, nange nagaanye okukola naye. Y'ensonga lwaki kati anziguddeko olutalo, " Gaza bwe yategeezezza. 

Wiiki ewedde, ebibinja by'abayimbi bombiriri byawaanyisiganyizza ebisongovu ne balwanira mu bbaala emu e Makindye.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});