David Lutalo ne Eddy Kenzo bacamudde ab'e Kalungu ku lwa Valentayini
Feb 15, 2024
David Lutalo ne Eddy Kenzo bacamudde ab'e Kalungu ku lwa Valentayini

NewVision Reporter
@NewVision
ABAAGALANA abaddigize e Kalungu nabo ekiro kya Valentine tekyabasaze n'akamu anti abayimbi David Lutalo ne Eddie Kenzo baabakubye emiziki abamu egy'abaggye mu butebe ne bacamuka paka kuwulira bubi ng'enjogera y'ennaku zino.
Minisita omubeezi ow'amazzi n'obutonde bw'ensi era omubaka omukyala owa Kalungu Aisha Ssekindi y'omu ku bataalutumiddwa mwana mu kivvulu ekyabadde ku NANA Hotel e Lukaya, ng'ono yalabiddwaako ng'abibyamu n'abawagizi be mu ssanyu.
Abayimbi abalala abakubye abantu emiziki kwabaddeko Kazibwe Kapo, Bintie Agie, Fred Sseremba, Willy Mukaabya, Henry Mutaawe, Big Bullet, Rapper J, Robert Rota, Charles Ssekyewa, Nawandagala n'abalala abaalese abadigize nga bamativu.

Ab'e Kalungu Nga Bacamuse Mu Ndongo Ya Valentine....

Bannakalungu Nga Bacamuse Mu Ndongo Ya Lutalo Ne Kenzo Valentine..

Kenzo Ng'ayimbira Ab'e Kalungu Ku Valentine.
Related Articles
No Comment