Nnalulungi wa Uganda asimbula nkya okukiikirira eggwanga mu z’ensi yonna

NNALULUNGI wa Uganda, Hannah Karema asiibuddwa okugenda okukiikirira Uganda mu mpaka z’obwannalulungi bw’ensi yonna ezigenda okubeera e India.

Nnalulungi wa Uganda asimbula nkya okukiikirira eggwanga mu z’ensi yonna
By Ignatius Kamya
Journalists @New Vision
#Kasalabecca #Nnalulungi #Miss Uganda #Hannah Karema Tumukunde #Brenda Nannyonjo #India #Buyindi #Uganda #Uganda Airlines

NNALULUNGI wa Uganda, Hannah Karema asiibuddwa okugenda okukiikirira Uganda mu mpaka z’obwannalulungi bw’ensi yonna ezigenda okubeera e India.

Bw’abadde ku kyenkya ekitegekeddwa ku Sheraton Hotel mu Kampala olwaleero ku Lwokutaano, Karema asuubiza okukomawo n’obuwanguzi kubanga yeetegese bulungi nnyo.

Kenneth Kazooba (ku Kkono) Owa Star Times, Hannah Karema Ne Brenda Nanyonjo   Copy   Copy

Kenneth Kazooba (ku Kkono) Owa Star Times, Hannah Karema Ne Brenda Nanyonjo Copy Copy

Ategeezezza nti asimbula nkya okugenda mu Buyindi gy’agenda okumala wiiki ssatu okutuusa nga 9 March we bagenda okulonda nnalulungi w’ensi yonna ow’omwaka guno.

Asabye Bannayuganda okumuwagira naddala nga bamulonda okuyita ku mukutu gwa Facebook ogwa Miss World era n’ategeeza nti ye akiwulira nti ku mulundi gunno kisoboka okuleeta kuno engule y’ensi yonna kubanga yeteegese bulungi.

Brenda Nannyonjo, akulira ekitongole kya Miss Uganda yeebaziza abavujjirizi abatambudde nabo okusingira ddala aba Star times abasobola okulaga Bannayuganda engeri gye balondamu Miss World.

Nannyonjo asiimye aba Uganda Airlines olw’okusalawo okutambuza Karema okumutwala e Buyindi ate n’okusalawo okusalirako abisale eri abo abanaayagala okugenda okuwagira Karema mu Buyindi mu mpaka ezo.