Mayinja enteekateeka z'ekivvulu kye ekya wiiki ejja azikoledde ku lyato n'asaba abantu okumuwagira

Feb 29, 2024

OMUYIMBI Ronald Mayinja atongozza enteekateeka z’ekivvulu kye ekya Old is Gold Ronald Mayinja @ 47 ekigenda okubaayo ku Lwokutaano lwa wiiki ejja

NewVision Reporter
@NewVision

OMUYIMBI Ronald Mayinja atongozza enteekateeka z’ekivvulu kye ekya Old is Gold Ronald Mayinja @ 47 ekigenda okubaayo ku Lwokutaano lwa wiiki ejja nga March 8  ku wooteri ya Serena mu Kampala.

Nantume Ne Mayinja Nga Boolekera Okulinnya Eryato.

Nantume Ne Mayinja Nga Boolekera Okulinnya Eryato.

 Ono bw’abadde mu lukungaana lwa bannamawulire lw’ategese ku lyato lya MV Nodil eribadde liseeyeeyeeza ku nnyanja Nalubaale erisimbudde e Munyonyo ku Jahazi Pier okugenda e Luzira ku Port Bell n’okuddayo.

Mayinja ategeezezza nti yasalawo okukola ekivvulu kino kubanga abadde awulira ebbanja okuva eri Bannayuganda abamuwagidde ennyo naye nga takolangayo kivvulu kigya mu buwagizi bwe bamulaze.

Aba Kika Cultural Troupe Nga Baaniriza Abantu Ku Lyato.

Aba Kika Cultural Troupe Nga Baaniriza Abantu Ku Lyato.

Mayinja yagambye nti abantu abanaagenda mu kivvulu kye bakumanya ensonga eziri emabega w’ennyimba ze yakola okugeza ng’olwa Ayii Land Lord lw’agambye nti yalukola oluvannyuma lw’okubeera ku mukolo ogumu Kabaka gwe yagambirako abantu okumusabirako nga kino kyamukwatako nnyo nga naye kwe yasinziira okukola akayimba ako.

Asabye abadigize okujja okumuwagira kubanga bagenda kulaba Mayinja gwe babadde tebalabangako. Muyimbi munne Maureen Nantume amuwerekedeko mu lukung’aana luno asabye abantu okugenda okuwagira Mayinja bwe baba baagala okuwuliriza ku nyimba ezirimu amakulu.

Nantume Ne Mayinja Bwe Baabadde Mu Lukung'aana Lwa Bannamawulire.

Nantume Ne Mayinja Bwe Baabadde Mu Lukung'aana Lwa Bannamawulire.

Musa Kavuma amanyiddwa nga KT ategese ekivvulu kino akakasiza abantu abanaagenda ku Serena nti tebagenda kusangayo buvuyo bwonna kubanga ebbanga ly’amaze ng’ategeka ebivvulu alina obumanyirivu okubwewala. Ekivvulu kino kiwagiddwa Bukedde TV era ng’okuyingira kwa mitwalo 100,000 n’emmeeza ya bukadde 3.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});