Ekizimbe Kenzo ky'asitudde mu Kampala kyogezza banne obwama!
Mar 13, 2024
OMUYIMBI Eddy Kenzo, agugumudde ekizimbe e Munyonyo, n’ayogeza bayimbi banne obwama.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUYIMBI Eddy Kenzo, agugumudde ekizimbe e Munyonyo, n’ayogeza bayimbi banne obwama.
Ennyumba eno obwaguuga, erimu ebisenge ebiwera, ekidiba ekiwugirwamu, akafo we bacakalira, ekisaawe we bazannyira ensero ne kalonda omulala mungi.
Ekizimbe Kenzo Ky'asitudde.
Abamanyi okubalirira, bagamba nti yaakuggweera mu buwumbi bw’ensimbi era abamu ku bantu batandise okukubaganya ebirowoozo ku ssente ezizimba ennyumba eno ng’abamu bamutenda nti okukuba myuziki kumukoledde.
Wabula abamu nga bwe bajuliza nti Kenzo musajja mukozi nnyo era ne bayimbi banne yabasakidde omusimbi oguli mu buwumbi okuva mu Gavumenti. Eddy Kenzo yeegasse ku lisiti ya bassereebu abalina ennyumba ezitunula ng’omuntu.
No Comment