Bya Musasi Waffe
OLUBUTO ky’ekitundu ky’omubiri, emmere gye tulya mwesengejjerwa, ne muvaamu ebirungo by’omugaso ebigenda mu mubiri ate ebicaafu ne bifuluma.
Wakati mu kukola omulimu guno, olumu weesanga nga olubuto lutandise okukuluma, emirembe ne gikuggwaako.
Okusinziira ku mukutu gwa https://www. betterhealth.vic.gov.au. Ebintu bingi ebiviirako olubuto okukuluma, omuli okulya ebintu ebicaafu, obutanywa mazzi gamala, endwadde z’omu lubuto, amabwa mu lubuto, ebika by’emmere ebimu, n’ebirala.
Olubuto bwe lukuluma, waliwo by’osobola okukola ng’oli waka n’okkakanya
ku bulumi, oba ne luwonera ddala. Mu bino kuliko;
l Ekisooka ddala kwe kunywa amazzi. Amazzi gagonza emmere mu lubuto, ebyenda ne
bisobola okwekyusa obulungi era singa obulumi buba buvudde ku bbula ly’amazzi mu lubuto, oba ojja kutereera mangu.
l Weewale okunywa kaawa, amajaani n’omwenge, kubanga bino byongera kusajjula mbeera.
l Lya emmere etakaluba nnyo omuli amatooke, omuceere n’ebirala naye ng’osooka kunywa mazzi. Emmere eno eyamba ebyenda okukuba emmere nga tebikoseddwa nnyo.
l Wummulako, omubiri gufune obudde obwezza obuggya.
l Bw’oba oliraanye eddwaaliro, gendayo bakuwe ku ddagala erikendeeza obulumi mu lubuto. Ate singa obulumi bweyongera, oba nga buwona bwe bukomawo, genda mu ddwaaliro bakukebere ofune obujjanjabi obulungi.