Kiki ekinywa Chameleon?????
Mar 20, 2024
Endabika y'omuyimbi Jose Chameleon ekanze abawagizi be

NewVision Reporter
@NewVision
ENDABIKA y’omuyimbi Joseph Mayanja amanyiddwa nga Jose Chameleone etandise okweraliikiriza abawagizi be buli lwe bamulaba mu bivvulu, ku mikolo ne mu kkubo.
Chameleone, 47, nga y’omu ku bayimbi abasinga amaanyi mu Africa era eyasooka okutunda Uganda ebweru waayo, mu kiseera kino ayebye.
Ekivvulu kya Ronald Mayinja ekyali ku Serena hotel ku lunaku lw’abakyala, kye kyasinze okumulaga abantu ababadde baludde okumulaba kyokka baasigadde beewuunya amaanyi amangi ge yayimbisizza gy’agaggya ng’ate omubiri guggwaawo!
Chameleon Lwe Yali Ku Kitanda. Ku Kkono Ye Nnyina.
Bw’omwetegereza amagumba galinga agali ku ngulu era bw’omwetegereza oyinza n’okubala emisuwa egimuli mu mikono.
Engalo ze ziriko obuntu obuzimbyezimbye we zeegattira, olususu lupeeruuse, emisuwa egisinga ogiraba we giyita olw’obukovvu, amagumba naddala ag’omu bulago, ffeesi n’omutwe galabika nnyo, embeera eraga nti tali bulungi.
Mu bibuuzo ebingi abawagizi be bye beebuuza ekya ssente tekiriimu nnyo kubanga essaawa eno omukutu gwa Tuko news ogw’e Kenya, gumulaga nti akwata kya 19 ku bayimbi 20 abasinga obugagga mu Africa.
Chameleon Lwe Yali Yeesimbye Ku Bwammeeya Mu Kalulu Ka 2021 Ng'akyanyirira.
Mu nnamba 20 mulimu Koffi Olomidde abalirirwamu obukadde butaano obwa ddoola l Nnamba 19 ye Chameleone abalirirwamu obukadde mukaaga obwa ddoola. Ekyo kiraga nti Chameleone si mwavu naye ekibuuzo kiri nti, lwaki afaanana bwatyo?.
Mu myaka gya 2000 nga gitandika we yabbinkanira ennyo ne Bobi Wine ne Bebe Cool nga beetuuma amannya, Chameleone yasooka kwetuuma lya Dokita wa Miziki.
Eryo teryamumalira mu e Nsambya olw’ebiwundu by’amagulu bye yafunira mu Arusha e Tanzania, yeetuuma erya ‘Atagenda’.
Oluvannyuma yalimalayo nti, ‘Nze Chameleone atakogga, atagejja, atagenda!’ Kyali bwekityo ng’agamba nti waaliwo Bayuda abaali baagala afe era yabayimbamu n’oluyimba.
Ebyo byonna byayita Chameleone nga wadde kituufu tagejja ate takogga naye ng’alabikako.
Essaawa eno akusobera kubanga anyaaluuse ekisusse ekireese okutya nti ssinga afuna obuzibu ng’ate ye minzaani y’omuziki abayimbi abato n’abanene kwe babadde beepimira okumala ekiseera, myuziki wa Uganda ayinza okwongera okukka.
Chameleon Lwe Yali Ku Kitanda. Ku Kkono Ye Nnyina.
Abadde mu ddwaaliro mu Amerika
Omwaka oguwedde Chameleone yabadde mu America mu ddwaaliro gye yagenda okumujjanjaba akataago akaalwala.
Abasawo baali baagala emitwalo 10 egya ddoola (mu za Uganda mu budde obwo obukadde 370) ezigambibwa nti bayimbi banne abaakulemberwa Bebe, baasaba Gavumenti n’ezisasula.
Wadde nga Chameleone yagenda mu ddwaaliro ne bamujjanjaba, tebaamulongoosa nga bwe kyali kisuubirwa abasawo ne baamuwa amagezi yejjanjabise ne bamulagira n’ebyokulya by’alina okulya
n’okunywa ate ne bamulagira ave ne ku by’okunywa ebimu.
Ensonda mu Amerika zigamba nti singa baamusala, osanga teyandivudde mu ‘ssweeta ‘ kubanga talina nnyo maanyi gagenda ku kiso.
Abatunuulizi bagamba nti Chameleone asana okuyamba amangu obutafaanana nga Mowzey Radio eyali anafuye ennyo omubiri nga singa omubiri gwe gwali mugumu osanga okumukuba mu bbaala tekyandimutuusizza ku kufa.
No Comment