Aba Fathers Union battulukuse entuuyo

Ssuuna Peter
Journalist @Bukedde
May 19, 2024

ABAAMI abafumbo ab’egattira mu kibiina ky’obukrisitaayo ekya Fathers Union battukulukuse entuuyo bwe babadde bavuganya mu mizannyo gy’obusabadinkoni mukaaga obukola Obulabirizi bw’e Namirembe.

Bano okuva e Luzira, Nateete, Gayaza, Mengo, Kazo n’ Entebbe, baabukeerezza nkokola okugenda ku kisaawe kya Lubiri SS mu Lubaga gye beetabidde mu mizannyo egy’enjawulo okwabadde Omupiira, omweso, ekusika omuguwa, Volleyball, n’emisinde gy’akafubutuko okukakkana nga Luzira ebanyweddemu akendo n’obunero 105 Entebbe n’ekwebera ne 30.

Emisinde gy’akafubutuko Luzira yaleebezza, ekusika omuguwa Gayaza yamenye mu jjenje kkalu, omweso Luzira, VolleyBall Luzira, ate omupiira Gayaza yamezze Luzira ku ffayinolo mu peneti.

Waasoose kubaawo kukebera bazannyi nga buli omu alagayo ebbaluwa y’obufumbo oluvannyuma lw’ekwemugunya nti omwaka oguwedde ttiimu ezimu zaazannyisa Abasiraamu n’emivuyo emirala.

Aba Fathers Union nga beetabye mu mizannyo

Aba Fathers Union nga beetabye mu mizannyo

Ttiimu nga Kazo ne Entebbe zaabadde n’abazannyi abatawera mu kisaawe wabula obwedda babakuba olube n’okubajereegerera nti lwaki tebakubiriza basajja mu bitundu byabwe ne bawasa era baakubiddwa ggoolo eziwera ne bawandukira mu kibinja.

Pulezident wa Fathers Union mu Bulabirizi bw’e Namirembe Wilber Grace Naigamba, yategeezezza nti nkola yaabwe buli mwaka okutegeka empaka nga zino n’ekigendererwa kw’okwegatta ng’abafumbo era n’okukolanga ku dduyiro kuba bangi bamala ekiseera nga bakola mirimu mirala.

Yakubirizza abavubuka okwettanira okuwasa n’okufumbirwa kubanga ebirungi biri mu bufumbo era n’abasaba obutabutya.

Oluvannyuma waabadde omukolo gw’okuwa abawanguzi ebirabo ogwakoleddwa eyali Minisita w’obuwangwa n’ennono e Mengo David Kyewalabye Male eyabakubirizza okubeera obumu mu maka gaabwe era n’abasaba nti olulala okujja n’abakyala baabwe ku mikolo nga gino babawagire.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});