Abagagga batutte amaato 18 n’emmeeri okulya

Jun 16, 2024

ABAGAGGA b’omu Kampala bali mu keetalo nga beetegekera akabaga k’oku mmeeri nga bajagulizaako mugagga munnaabwe Fredrick Kiyimba Freeman okuweza emyaka 50. Basimbudde Nakiwogo - Entebe ku Lwomukaaga okugenda mu bizinga by’e Ssese okubinuka gye banaava ku Ssande.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAGAGGA b’omu Kampala bali mu keetalo nga beetegekera akabaga k’oku mmeeri nga bajagulizaako mugagga munnaabwe Fredrick Kiyimba Freeman okuweza emyaka 50. Basimbudde Nakiwogo - Entebe ku Lwomukaaga okugenda mu bizinga by’e Ssese okubinuka gye banaava ku Ssande.
Baagendedde mu maato 18 n’emmeeri lugogoma bbiri eza Dr. Sadala Musoke. Emmeeri enkulu abagagga gye baagendeddemu kuliko eya MV/P057 Rafiki emanyiddwa nga MV NODL Express.
Vva ku biri eby’eryato lya MV Templar eryavaako obuzibu mu micakalo gya 2018 abagagga n’abali ba ssente bwe baagwa mu nnyanja ne bafa, Dr. Sadala yabaleetedde emmeeri eya ddala empya ate emaze ebbanga ng’ekolwako saaviisi owa buli kika abagenyi ba Freeman batambule nga baliisa buti. Eby’enkizo ebiri mu mmeeri eno;
l Emmeeri erimu buli kimu okuli wooteeri n’ebyokunywa eby’enjawulo, AC ereeta akawewo n’ebbugumu bw’oba owulira empewo, ebizikiza omuliro, eddagala singa obeera ofunyeemu enkenyera.
l Erimu ebifo eby’enjawulo okuli eby’ekigagga ddala n’abagagga abatannatuuka bali aboogerwako. N’abatannaweza ssente balina ebifo ebyabwe gye batuula era nga bwe kibeera ne ku nnyonyi.
l Abakungu n’abagagga ffugge batuula mu kalina waggulu.
l Erimu ne bu bbanka obutonotono nga bw’olaba mobile money nga singa ssente ozirya ne zikukendeerako, osobola okuziggyayo ne muzirya buto.
l Emmeeri eno etikka abantu 250 omulundi gumu.
l Egula obukadde bwa doola 8,000,000 (eza Uganda 30,400,000,000/-)
l Olunaku epangisibwa obukadde 18.

AGIVUGA WAAKUKOZESA TEKINOLOGIYA W’AMAPEESA
Dr. Sadala yagambye nti emmeeri eno kizibu okugifuniramu obuzibu ku mazzi kyokka nga ne bwe kibeera kibaddewo emala essaawa 72, ng’agituddemu tamanyi oba eyimiridde oba etambula.
Erina amaato agaagizimbirwamu munda nga singa ebeera efunye obuzibu gavaayo munda ne gagwa mu nnyanja wakati okutaasa abantu.
Buli limu ku maato ago litwala abantu 75 mu ngeri ya emergency.
Life jacket eziziyiza omuntu obutagwa mu mazzi buli omu azirina mu ntebe ye era obuzibu bwe bujja, ojambala bwambazi ng’osigala ku mazzi ng’oseeyeeya.
Eriko akabalaza awali obutebe awawummulirwa nga mwota akasana.
Terimu siteeringi, agivuga alina kukozesa tekinologiya w’amapeesa n’okuseereza nga bw’oseereza ssimu. Ebeera n’abagoba abalala babiri abalindiridde okuyamba kw’abeera avuga ssaako abakozi abalala 30, abalabirira n’okulagirira buli alina ky’abuuza nga baseeyeeya.
Emmeeri eyo egenda kutwala abagagga kyokka waliwo abalala abagenda okuwerekera Freeman mu maato amalala kwe kuli n’emmeeri eya MV NODL Victoria

AMAATO AMALALA AG’OKUWEREKERA ABAGAGGA

Okwawukana ku bubaga obuzze bubeerawo, abagagga abalala abaakulembeddwaamu ssentebe waabwe Godfrey Kirumira, baaleese amaato 18 ag’omulembe mwe bagenda okutambulira ne ffamire zaabwe okwegatta ku mmeeri ya Freeman Kiyimba.
Kirumira yagambye nti ng’oggyeeko amaato 18, bapangisizza amaato g’ekitongole kya poliisi ekya balubbira 4 okuli abaserikale 8 ku buli lyato nga bano baakuba bulindaala okutaasa embeera yonna eyinza okugwawo.
Kirumira yategeezezza nti abamu ku bagagga abakakasizza okwetaba ku kabaga kano ne ffamire zaabwe kuliko;
Ephraim Ntaganda owa E-Towers ku Kampala Road, Joseph Yiga owa steel and Tube industries, George William Kajoba, Peter Ssentale, Peter Ssegawa, Paul Ssembatya Mulundanume n’abalala abeegattira mu kibiina kya Kwagalana n’ekya Tussa Kimu.
“Okulya ssente si kulya mwana, ffe ssente twazikola era tulina okuzeeyagaliramu era ku nnyanja kwe tusiiba nga tulya obulamu. Eryato lya MV Templar eryatta abantu 33 lyali kkadde. Gano ge tugenderamu mapya ttuku era ga bbeeyi,” Kirumira bwe yagambye. Entujjo eno egenda kubeera Kalangala ku Brovad Sand & Lodge bbiici naye eriko amateeka ku nnyambala n’enneeyisa.

PULOGULAAMU Y’EBIKUJJUKO

Buli yalinnye emmeeri n’amaato yasoose kufuna byakulya n’okunywa nga bw’ayagala. Amaato gaaseeyeyezza nga gakuba myuziki ow’akabi. Bwe baatuuse e Ssese, baafunye ebisenge byabwe ne bawummulamu nga bamaze n’okulya ekyemisana. Buli kimu kyabaddewo ng’ayagala sawuna agendayo n’ayota, ayagala okuwuga nga swimming pool weeziri, abaagala masaagi ng’abamukola nabo beetala.
Waabaddewo amaato amalala ag’ekigagga agaakoze kye bayita Boat Cruise ng’abagagga n’abagenyi baabwe baatudde omwo ne babavugamu okulambula ebimu ku bizinga by’e Ssese 84 nga basinziira ku kizinga Buggala we baabadde.
Ekiro waabaddewo embaga kuulamalungi okwabadde bbandi y’abayimbi abakugu, ebittafuttafu n’ebirala ebisanyusa.
Akawungeezi, abagagga baayambadde mu ngeri ya ‘cowboy/ cowgirl’ nga bano abagagga b’e Texas mu Amerika. Mu nnyambala eno, abakyala bambala jjiini ne bbulawuzi ez’ebyeso n’enkoofiira enneetooloovu.
Bwe kibeera kiteeteeyi, kirina okuba nga kikoma waggulu w’amaviivi nga kyetooloovu n’enkoofiira okwo.
Abasajja bambala jjiini n’essaati z’ebyeso n’enkoofiira enneetooloovu. Waliwo ne we baabadde balina okwambalira ebyeru ttuku ng’ennyange.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});