Omuzungu acamudde Chris Evans

May 07, 2025

OMUYIMBI Chris Evans kizibu okumwawula n’abakyala. Ebifaananyi bye nga yeemoola n’Omuzungu byasaasaanidde emikutu gy’oku mitimbagano era abawagizi be abakyala kwe kwebuuza, abakoze atya? Mu bifaananyi bino, alimu n’omuwala amanyiddwa nga ‘Maxnoir’ era enkolagana yaabwe yatandise dda okwogeza abantu obwama.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUYIMBI Chris Evans kizibu okumwawula n’abakyala. Ebifaananyi bye nga yeemoola n’Omuzungu byasaasaanidde emikutu gy’oku mitimbagano era abawagizi be abakyala kwe kwebuuza, abakoze atya ? 

Mu bifaananyi bino, alimu n’omuwala amanyiddwa nga ‘Maxnoir’ era enkolagana yaabwe yatandise dda okwogeza abantu obwama.

Abamu bagamba Chris Evan yandibeera mu kabadi k’okufulumya oluyimba olupya wabula abalala bagamba nti mwogeza ddembe ono yandiba ng’akooye omukwano gw’Abaddugavu anti buli gw’afuna gwe bapasula ne bamuleka mu bbanga. Abamu bamukwatiddwaako ennaku nga bagamba anaamalako atya n’Olungereza anti embaawo azze akyogera nti teyalaba ziwera.

Chris Evans, ye yayimba akayimba aka; ‘Njagala Rihanna naye mmutya...’ Era yaliko muninkini wa Jamirah Kalungi wabula ne baawukana era Jamirah n’afumbirwa omusajja omulala.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});