Ebyobugagga bya Ivan Ssemwanga bye yaleka bitabudde Zari ne ffamire y'omugenzi!
Jul 24, 2024
Olutalo lwatandise ku wiikendi, Zari bwe bwe yatadde akatambi ng'alumba abaffamire ya Ssemwanga b'agamba nti tebafuddeeyo ku bya kukuza baana baabwe ate baagala kwefunza bintu bya muganda waabwe.

NewVision Reporter
@NewVision
OLUTALO kakuuse, lubaluseewo wakati wa Zari Hassan n'abeng'anda za Ivan Ssemwanga eyali bba n'afa emyaka musanvu egiyise.
Olutalo lwatandise ku wiikendi, Zari bwe bwe yatadde akatambi ng'alumba abaffamire ya Ssemwanga b'agamba nti tebafuddeeyo ku bya kukuza baana baabwe ate baagala kwefunza bintu bya muganda waabwe.
Omugenzi Ssemwanga Ne Zari.
Zari ne Ssemwanga baalina abaana basatu nga bonna balenzi kyokka agamba nti tewali waaluganda yenna yali avuddeyo kubabuulirira nga abasajja abavubuse wadde okubuuza bwe bali.
Olutalo lwavudde ku bigambibwa nti ekizimbe kya Ssemwanga ekiri ku luguudo lwa Sir Apollo e Makerere ekirina emyaliiro etaano nti waliwo abaagala okukitunda.
Zari yawandiise ebigambo nti;
“Abo tebalina baana b'abaganda baabwe be balwanirira wabula balwanirira mbuto zaabwe. Natwala abaana e Uganda, olw'okuba ne mu budde obwo era waaliwo olutalo lw'okukaayanira ebizimbe by'e Makerere, baagaana okujja okubalaba.
Okuva lwe twayabya olumbe era tebaddangamu kubalaba ndowooza kati wayise emyaka ena oba etaano. Mmwe abeefuula abaagala ennyo abaana ba muganda wammwe nti mulwanirira n'ebintu byabwe, lwaki mwagaana okubalaba?
Abaana bano kati bange, okuva omusajja wange lwe yafa. Ka babeere bantu, Ivan be yayamba wano e South Africa, tewali yali akubidde ku mutabani wa Ivan oba nze n'ambuuza ku baana.
Naye Ivan yayamba bameka okubabeezaawo? Okuggyako Rashid Nsimbe n'abalala abatonotono ababadde bafaayo. Tetwagala ssente naye waakiri okubabuuzaako.
Kalina Egambibwa Okuvaako Enkaayana.
Muganda wa Ivan Ssemwanga, George Ssemwanga eyategeezezza nti ye musika wa kitaabwe, yannyonnyodde nti yali abeera South Africa n'akomawo emyaka esatu egiyise era ebintu byabwe abimanyi nnyo.
Bwe yabuuziddwa oba abaana ba muganda waabwe babalabako okuva lwe yafa, yazzeemu nti abadde abalaba kyokka ekifundikwa tebakibasibanga, ssenga waabwe y'akyakiterese kati emyaka musanvu bukya baziika Ivan.
Wano we yagambidde nti abaana abo oba Zari atya okubatwala okubasiba ekifundibwa, beetaaga kubaggyako DNA.
Agamba nti amannya ga Ivan Ssemwanga ge yali yawandiisibwamu e South Africa malala era amannya ago galaga nti yafa talina baana kuba ge yakozesa okufuna obutuuze bwayo.
Nti ebintu byetaaga batuule babirung'amye okuli n'okulung'amya amannya ga Ivan Ssemwanga n'ago ge yeewandiisizaamu e South Africa bikwatagane kuba kati bali ng'abantu ababiri ate nga y'omu kyokka kyetaagisa bonna bakkaanya.
Ku by'okuyamba abaana, agamba nti nabo bennyini abamu nga baganda ba Ssemwanga, ye yali abayamba ate nga ssente Zari ye yazisigaza.
Agamba nti ye yasooka okuteekawo baddayirekita b'amakampuni ga Ssemwanga ng'afudde okuli n'amasomero nti kyokka essaawa eno Zari ali nga ye ddayirekita yekka. George we yasabye ebyobugagga bya Ssemwanga byonna biteekebwe mu mannya ga baana be.
George atya nti ssinga Zari y'abavunaanyizibwako byonna, ayinza n'okugabanyizaako ebimu ku baana b'azadde mu basajja abalala.
Ivan Ssemwanga yafa May wa 2017 mu kibuga Pretoria. Yaleka namwandu Zari Hassan n'abaana baabwe basatu. Yali muli wa ssente kyokka ate ng'ayamba abantu bangi okuli be yawanga emirimu e South Africa, be yatwalangayo okukuba ekyeyo.
Abalala yabawanga buwi ssente mu Uganda, be yaguliranga ebyokulya n'okunywa mu bbaala. Amannya amalala agaali gayitibwa Ssemwanga kwaliko n'aga Ali Ssenyomo.
No Comment