Gloria Bugie amazaalibwa ge ag'emyaka 20 agajagulizza mu Ghetto!

Sep 24, 2024

Yagambye nti ayagala okwongera okutumbula ekitone kye eky’okuyimba afube okulaba ng’akiikirira Uganda ku mutendera gw’ensi yonna ekintu ekibadde kikyalemye abayimbi abamu.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision

Omuyimbi Gloria Bugie adduukiridde abantu b’omu Ghetto bw'abadde ajaguza amazaalibwa ge.

Ku Ssande, Bugie eyayimba “Nyash” yajaguza amazaalibwa ge ag’emyaka 20 era ng’okujjaguza yakututte Nalukolongo mu Ghetto.

Gloria Bugie Ng'awa Omwana Ebitabo.

Gloria Bugie Ng'awa Omwana Ebitabo.

Eno abantu baayo yabatwalidde ebintu omwabadde ebitabo bya baana abagenda ku ssomero n’ekkalaamu, emigaati, ssabbuuni, ssukaali n’ebirala ebikozesebwa awaka okubayambako mu kutambuza obulamu.

Yategeezezza nti kino azze akikola wabula nga takiteeka mu kkamera ng’ekyamuletedde okubissa bino mu kkamera kwe kwagala okusikiriza abantu abalala abalina obusobozi okuyamba abantu abatali bulungi.

Yagambye nti ayagala okwongera okutumbula ekitone kye eky’okuyimba afube okulaba ng’akiikirira Uganda ku mutendera gw’ensi yonna ekintu ekibadde kikyalemye abayimbi abamu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});