Ebibumbe bicamudde Rema Namakula

Feb 26, 2025

Omuyimbi Rema Namakula yagenda Bungereza okuyimba afunyeemu ebiwera.

NewVision Reporter
@NewVision

Omuyimbi Rema Namakula yagenda Bungereza okuyimba afunyeemu ebiwera.

Ekivvulu ekyamutwala bwe kyawedde, kwe kusalawo alambuleko ebifo ebitali bimu. 

Namakula Ng'ali Ku Kibumbe Kya De Rock.

Namakula Ng'ali Ku Kibumbe Kya De Rock.

Gye yalaze, waliwo gye yasanze ebibumbe bya bassereebu abaayatiikirira mu mirimu gyabwe okwabadde ekya The Rock, Princess Diana, Beyonce n’abalala ne yeekubya ebifaananyi n’ebibumbe bino era n’abissa ku mutimbagano ne gusannyalala. 

Wano Yabadde Ku Kibumbe Kya Leonard De Caprio

Wano Yabadde Ku Kibumbe Kya Leonard De Caprio

Anti buli omu bakira alina ky’ayogera ku Rema n’ebibumbe era mulimu n’abaamulangidde amaalo sso ng’abalala baamuwolerezza. 

Abalala abaaliko e Bungereza ne beekubya ebifaananyi n’ebibumbe kwe kuli Patricia Nabakooza, eyali owa Ghetto Kids nga ye yeekubya ekifaananyi n’ekibumbe kya Will Smith omuzannyi wa ffirimu’ nakinku.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});