Ssuuna Ben ne Mbaziira Tonny abeebinyaanyanyaanya bawangudde awaadi

Dec 04, 2024

Ssuuna Ben ne munne Mbaziira Tonny abeebinyaanyanyaanya baawangudde awaadi eya DJ ne ttiimu y’ababiri esinze era kata bafe essanyu.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAAWANGUDDE awaadi eza Hi SkoolAwards 2024, baazifunye mu sitayiro ne balaga essanyu.

Ssuuna Ben ne munne Mbaziira Tonny abeebinyaanyanyaanya baawangudde awaadi eya DJ ne ttiimu y’ababiri esinze era kata bafe essanyu.

Black Shuga Ne Isaac Owa Success Motors (ku Ddyo)

Black Shuga Ne Isaac Owa Success Motors (ku Ddyo)

Ate Isaac owa Success Motors n’atwala eya kkampuni esinga okusuubuza mmotoka. Sula Motors, yawangudde awaadi eya mmotoka esinga enkolagana n’abantu.

Omuyimbi King Saha yafunye ssatu okuli ey’omuyimbi asinze omwaka n’agamba nti abadde asuubira awaadi nga 10 kuba byonna abikoze.

Mwanamuwala Black Shuga, ye yabadde kalabaalaba w’omukolo guno era bakira abagagga abakwasa awaadi ng’afukamidde nga bw’abakuba n’oluseke.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});