Spice Diana ataddeko omubiri...................
Dec 11, 2024
OLUGAMBO lwayiting’ana nti Spice Diana ne maneja Roger gw’amaze naye akabanga baawukanye wabula luno terwammuka anti ate abantu batera okubalaba nga bali bombi.

NewVision Reporter
@NewVision
OLUGAMBO lwayiting’ana nti Spice Diana ne maneja Roger gw’amaze naye akabanga baawukanye wabula luno terwammuka anti ate abantu batera okubalaba nga bali bombi.
Kyokka era waliwo n’olwafulumye nti bakoma okukola bombi mu January w’omwaka ogujja 2025 nti era kye yavudde aleeta omuyimbi Jowy Landa.
Spice Diana bwe yabadde yeegezaamu
Mu lukung’aana lwa bannamawulire, maneja Roger lwe yategekera Spice Diana wiiki ewedde, Jowy Landa yaliwo era Spice Diana yali musanyufu okumulaba abamu ne bagamba nti ono ye musika we mu kibiina kya Maneja Rodger ekya Source Management.
Jowy Landa, yayawukana ne Jeff Kiwa gye buvuddeko era omwaka guno, akubye obuyimba obukutteyo okuli aka Sugar Mama.
Kyokka n’endabika ya Spice Diana, eyogeza abawagizi be obwama nti ataddeko omubiri naddala mu bitundu by’olubuto abamu kwe kutandika okugamba nti oba alina bye yeetisse anti ayambala ne bbulawuzi, olubuto ne lupinduuka.
No Comment