Azimbidde nnyina ennyumba ya buwumbi n'awuniikiriza abantu!
Dec 18, 2024
ABAYIMBI ne bakazannyirizi beefuze omukolo ogwakoleddwa Yasin Kachwere, nnannyini Success Motors, mu kuyingira ennyumba gye yazimbidde nnyina ebalirirwamu obuwumbi bwa ssente. Baabadde Kasanje.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAYIMBI ne bakazannyirizi beefuze omukolo ogwakoleddwa Yasin Kachwere, nnannyini Success Motors, mu kuyingira ennyumba gye yazimbidde nnyina ebalirirwamu obuwumbi bwa ssente. Baabadde Kasanje.
Abayimbi abaabaddeyo kwabaddeko; Acidic Vokoz, Benti Boys, Shami and Shawa, eyazze ng’azannya nga Pulezidenti Museveni, Maurana ne Reign n’abalala.
Yasin Kachwere, yategeezezza nti nnyina yamubeererawo nnyo nga mu byonna by’amukoledde, abadde alina okugattako okumuzimbira ennyumba galikwoleka. Maama yeebazizza omutabani olw’ebirungi by’amukolera.
No Comment