Ba DJ batongozza ekibiina ekibatwala ne bawaga
Dec 23, 2024
LIBADDE ssanyu jjereere, kulya na kunywa gattako okutabula emiziki nga ba DJ okwetoloola eggwanga batongozza ekibiina kyabwe ekibagatta kye batuumye United Uganda DJ's Association.

NewVision Reporter
@NewVision
LIBADDE ssanyu jjereere, kulya na kunywa gattako okutabula emiziki nga ba DJ okwetoloola eggwanga batongozza ekibiina kyabwe ekibagatta kye batuumye United Uganda DJ's Association.
Omukolo guyindidde ku Galaxy Motel e Katwe okuliraana ekizimbe kya Quality Chemicals era ku kizimbe ku kizimbe kya Galaxy Motel kwe batadde ne ofiisi zaabwe.
DJ Yasa ng'ayogerako eri banne
Ekibiina kino kyakulonda n'abakulemebeze baakyo ng'essawa eno we twogelera DJ Nimrod ye pulezidenti waabwe, DJ Yasa ye muwandiisi, gattako abalala abali ku kakiiko akafuzi okuli DJ Back wamu ne Spin man nga bano be baategese omukolo guno ne banjulira bannaabwe ebigendererwa by'ekibiina.
DJ Yasa yategeezezza nti ba DJ baddembe okwegazaanyiza ku ofiisi z'ekibiina n'abakowoola okujja ku ofiisi n'endagamuntu zaabwe beewandiise balyoke bayingizibwe mu kibiina mu butongole bafune ID y'obwa DJ wamu n'ebintu ebirala omuli t-shirt y'ekibiina.
DJ Yasa yayanjudde n'enteekateeka y'ekibiina okutendeka ba DJ okubanguka n'okulaba nga bannaabwe abaakola edda amannya babakwata ku mikono n'okubafunira emirimu, n'agamba nti nti era balina n'enteekateeka y'okutondawo ensawo ya munnomukabi okulaba nga beeyamba nga ba DJ.
Oluvannyuma baalidde ekijjulo ne banywa n'okunyeenya ku galiba enjole ggwe ate ssebo agitta tagiwoomya!!
Wano nga basala amasala
DJ Yasa agamba nti ekibiina kino kiri wansi wa fedeleesoni ya Uganda National Musicians Federation (UNMF )ekikulirwa Eddy kenzo, omuyimbi ow'ettutumu ate ng'era muwabuzi wa Pulezidenti Museveni ku by'obuyiiya.
Yasa yeebazizza Eddy Kenzo abayambye ekinene okulaba nga batongoza n'okuwandiisa ekibina kino okutuuka ne ku mutendera ogukitongoza.
No Comment