DJ Lito avuganya mu zaakutabula muziki mu Africa yonna
Mar 26, 2025
Ronald Ssekitooleko amanyiddwa nga Deejay Lito atambula agaziwa, oluvannyuma lw’okulondebwa okuvuganya mu awaadi za African Golden Awards ez’okubeerawo mu May e Kenya.

NewVision Reporter
@NewVision
Ronald Ssekitooleko amanyiddwa nga Deejay Lito atambula agaziwa, oluvannyuma lw’okulondebwa okuvuganya mu awaadi za African Golden Awards ez’okubeerawo mu May e Kenya.
Ono mutabuzi wa kyuma era mu 2023, yawangula awaadi ya DJ asinga okutabula ekyuma mu East Africa (Afrima).
Ku luno, avuganya mu za African Golden Awards. Yeewaanye nti k’agende akiikirire ba DJ b’e Uganda era akomewo n’engule. Ng’oggyeeko okutabula ekyuma, akola n’ennyimba era akoze n’abayimbi okuli; Bebe Cool, Pallaso n’abalala.
Related Articles
No Comment