Allien Skin acamudde abantu mu ky'epukulu

OMUYIMBI Patrick Mulwana amanyidwa nga Alien Skin akyankalanyizza ekibuga ekivulu ky'ekyepukulu ekyategekeddwa Abby Musinguzi (Abtex) ku kisaawe e kololo mu kampala.

Allien Skin ng'akuba abantu omuziki mu ky'epukulu
By Janan Kisitu
Journalists @New Vision
OMUYIMBI Patrick Mulwana amanyidwa nga Alien Skin akyankalanyizza ekibuga ekivulu ky'ekyepukulu ekyategekeddwa Abby Musinguzi (Abtex) ku kisaawe e kololo mu kampala.
Abantu nga bali mu kyepukulu

Abantu nga bali mu kyepukulu

 
Kino kidiridde eggaali ya Alien okulemesa eya Mudra okuva mu kifo webabadde kuba Mudra abadde amaliriza okuyimba ate Alien n'abantu be webatuukidde awo ne wabaawo obutabanguko naye tebumazeewo kaseera ka wanvu embeera ne kakkana.
 
Oluvannyuma Allein alinnye ku siteegi n'akuba abantu be omuziki ogubakyamudde ennyo.
Abantu nga banyumira eky'epukulu

Abantu nga banyumira eky'epukulu

 
Abayimbi abalala abayimbye  mu Ekyepukulu kubaddeko Winnie Nwagi,Kataleya and Kandle,Geosteady,Willy Mukaabya, Ava Peace,Vinka,Mudra,Karole Kasita,Elijah kitaka,Vinka n'abalala bangi.
 
Minisita w'abavubuka Balam Barugahara asomye obubaka bwa Pulezidenti Museveni omubadde okufaayo eri abategesi be bivulu okulaba nga ebizibu byabwe bifibwaako. Wano Abtex weyebaziza Balam okulaga obumu yadde balinamu obutakkaanya mu nsonga z'emirimu.