Omuyimbi Martha Mukisa, omwaka guno yaguyingira bulungi era kati ku mannya g’alina, baamuwadde n’erya ‘Maama Tusuubira’.
Ge twekakasa galaga nti takyava waka wadde okugendako mu sityudiyo kuba muzito.
Mbu era omwami we yamugaanyi n’okukola yintaviyu, nti bajja kumubuuza ebibuuzo ebimuleetera situleesi, gy’atalina kufuna mu kiseera kino.
Martha Mukisa muyimbi mu kibiina kya Black Magic Entertainment, azze akuba obuyimba obunyumira abantu. Baasinga kumumanyira ku kayimba ka ‘Sango’ ke yayimba ne Eddy Kenzo aka Sango.