Ekivvulu kya Omega 256 kyongezeddwayo
Apr 17, 2025
Shamim Murerwa amanyiddwa nga Omega 256 y’omu ku bayimbi abava e Mbarara abasinga obuganzi n’okugobererwa.

NewVision Reporter
@NewVision
Shamim Murerwa amanyiddwa nga Omega 256 y’omu ku bayimbi abava e Mbarara abasinga obuganzi n’okugobererwa.
Bweyakuba akayimba ka ‘Follow’ kaamuwanika ne kamuwa amasannyalaze era kwe kusalawo ategeke ekivvulu kye ekisookedde ddala mu Kampala. Kino kibadde kyakubaawo omwezi ogujja wabula yakisazizzaamu.
Omega 256 bw'afaanana.
Mu nsonga ze yawadde ku by’okusazaamu mulimu obutakkaanya bwe yafunye n’omutegesi w’ekivvulu kino amanyidwa nga Nobat Events gwe babadde bawaanyisiganya naye ebisongovu ku mutimbagano.
Abalala bagamba nti olutalo lwe ne Ray G nalwo lwamutiisizza anti lwayawudde mu bawagizi be ng’abamu bagamba tebajja kujja okutuusa nga yeetonze. Ekivvulu kyayongeddwayo okutuusa mu September.
No Comment