Owattakisi akalabudde ennamba ya Sheikh Kiti n'amugamba nga omutonzi we bw'asazeewo!

Apr 30, 2025

NGA waakayita omwezi gumu n’ekitundu nga Sheikh Kiti aweereddwa mmotoka ekika kya Vanguard, agudde mu embi z’owa takisi eyabadde avugisa ekimama n’akalabula enzirusi ye. 

NewVision Reporter
@NewVision

NGA waakayita omwezi gumu n’ekitundu nga Sheikh Kiti aweereddwa mmotoka ekika kya Vanguard, agudde mu embi z’owa takisi eyabadde avugisa ekimama n’akalabula enzirusi ye. 

 

Abaabaddewo banyumya nti Sheikh Kiti bwe yagezezzaako okunenya ku muvuzi wa takisi ono, yamuzzeemu nti; ‘Omutonzi waffe y’asalawo’. Bino bye bimu ku bigambo bya Sheikh Kiti ebyafuuka eng'ombo, bye yakozesa ng’asomesa abantu ku mukutu gwa Tik Tok. 

Era okumanya ‘Omutonzi waffe y’asalawo’, owa takisi mu kifo ky’okutya nti akalabudde mmotoka ya Sheikh, yasanyuse busanyusi okulaba ku Sheikh Kiti ng’agamba nti bulijjo yeesunga olunaku luno. 

N’abantu baakung'aanye ne beekubya ebifaananyi ne ssereebu waabwe wabula owa takisi ne Sheikh Kiti oluvannyuma bazze ebbali ne bateeseganya era okukkakkana nga beesise ne mu mikono. 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});