Papa Cidy ekyeyo kimwokezza n'adda ku butaka

May 21, 2025

OMUYIMBI Papa Cidy, yali yagenda Bungereza era amazeeyo ebbanga. Yagendera mu kiwenda kya kuyimba n’omuyimbi omulala amanyiddwa nga Dennis Lama wabula ne basigalayo bagatte obulamu.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision

OMUYIMBI Papa Cidy, yali yagenda Bungereza era amazeeyo ebbanga. Yagendera mu kiwenda kya kuyimba n’omuyimbi omulala amanyiddwa nga Dennis Lama wabula ne basigalayo bagatte obulamu.

Wabula ekyeyo kirabika kyamwokezza n’adda ku butaka era yatandikidde mu kusamba kyalaani anti ng’oggyeeko okuyimba, omulimu gwe omulala ogw’omu mutwe, gwa kutunga era yatungirako muyimbi munne
Jose Chameleone ebyambalo.

Wadde yeekweka era n’ennamba y’essimu n’agikyusa, abamulabako bagamba nti mwali muno era yazzeeyo n’okusaba mu kkanisa ya Pasita Manjeri, omusumba we mu by’omwoyo.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});