Bakyala ba Pallaso bavuganyizza ku kivvulu kye

May 21, 2025

Ku kivvulu kye ekyabaddewo ku wiikendi, bakyala be bombi baabaddewo okuli omu amanyiddwa nga Mimi n’omulala Mei okuva e Sudan. 

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision

Pallaso bwe yayimba oluyimba lwa; ‘Bino bya banene’ yandiba nga yali yeeyimbako. 

Ku kivvulu kye ekyabaddewo ku wiikendi, bakyala be bombi baabaddewo okuli omu amanyiddwa nga Mimi n’omulala Mei okuva e Sudan. 

Baatudde mu bifo by’abakungu (VIP) wabula nga buli omu afuba okukakasa munne nti ye ‘maama kiyungu’.

Ng’oggyeeko okusunda ebyokunywa eby’ebbeeyi, buli omu yatambudde ne bawolole abawuggya obunyama kwossa n’okukuba enduulu ezisunga sayidi endala.
 
Era bano bakira basasula ba kalabaalaba b’olunaku, okuboogerako era eyasinze okuwaayo ssente erinnya lye lyasinze okuvuga. 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});