Chamilli agenze kuyimbira bamupiira e Rwanda
May 28, 2025
JOSE Chameleone, okuva lwe yava mu Amerika okujjanjabwa, agenda akyalako mu nsi ezituliraanye.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
JOSE Chameleone, okuva lwe yava mu Amerika okujjanjabwa, agenda akyalako mu nsi ezituliraanye.
Yaliko e Kenya gye buvuddeko ate kati kiraabu y’omupiira eya APR mu Rwanda, yamuyise okuyimbira abawagizi baayo ng’ettunka ne Musanze FC mu liigi y’e Rwanda.
Baakubeera mu kisaawe kya Amahoo era Chamilli yagenze ne muganda we Weasel ne mikwano gye. APR, muzannyiramu Bannayuganda okuli; Tadeo Lwanga ne Dennis Omedi.
Related Articles
No Comment