Diamond awasizza Zuchu n'ategeeza ensi nga bwe yayiga obuguminkiriza

DIAMOND Platnumz, awasizza muyimbi munne Zuchu wadde ng’omwaka oguwedde, baalangirira nti baawukanye.

Diamond awasizza Zuchu n'ategeeza ensi nga bwe yayiga obuguminkiriza
By Musa Ssemwanga
Journalists @New Vision
#Zuchu #Mbaga #Bufumbo #maka #Tanzania #Kasalabecca #Kugumiikiriza

DIAMOND Platnumz, awasizza muyimbi munne Zuchu wadde ng’omwaka oguwedde, baalangirira nti baawukanye.

Ng’ayita ku mikutu gye, Zuchu yategeeza nti baali bakkiriziganyizza ne Diamond okwawukana wabula ne yeezizika nti ate abantu tebalina kwewuunya nga babalabye bombi kuba endongo ebagatta.

Oluvannyuma, baddinga'ana era ku Ssande baawooweddwa. Diamond ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Instagram, yataddeyo obubaka ng’agamba ebimu ku bintu by’ayize mu myaka gy’alina, bwe bugumiikiriza.