Stecia ne Nantume batabaganidde mu kivvulu!
Jun 10, 2025
ABAYIMBI Hajjati Stecia Mayanja ne Maureen Nantume bazzeemu okulabagana mu mmunye oluvannyuma lw’emyaka nga tebakwatagana.
By Musasi Bukedde
Journalist @New Vision
ABAYIMBI Hajjati Stecia Mayanja ne Maureen Nantume bazzeemu okulabagana mu mmunye oluvannyuma lw’emyaka nga tebakwatagana.
Mu kivvulu kya Stecia ekyabadde ku Serena ku Lwomukaaga, Mesach Ssemakula yabatabaganyizza n’atageeza nti ku nsi, tekuli atasobya ate obutakkaanya tebulina kye bubayamba.
Stecia Ne Nantume Mu Ssanyu.
Bano, beeweerezaako ebigambo ebisongovu era omu ku bo, n’ayogera ku munne nti yeenyigira mu bikolwa by’akalogo kalenzi. Abawagizi baabwe, baasanyuse bwe baalabye Mesach ng’abatabaganyizza n’asaba Geofrey Lutaaya
okubategekerayo ekijjulo banyumyemu.
Stecia yategeezezza nti yawulidde ng’akkakkanye n’agamba nti Nantume yamukubye akaama n’amusaba okumusonyiwa byonna bye yali amusobezza.
No Comment