ABAANA b’e Rukungiri, bayisizzaamu Winnie Nwagi eggaali nga bamugoba ave ku siteegi. Nwagi eyabadde yeesaze akapale akamukutte, yatuuse ku siteegi ebintu ne bimusobera olw’ebyuma ebyabadde bivaavaako wakati ng’ayimba era wano abawagizi obusungu ne babuzza ku ye.
Omuzindaalo gwasirise ng’abantu tebalina kye bawulira, okwekyanga ne kutandika. Abawagizi abamu bakira bagamba nti oba baleese Nwagi wa bicupuli nti era gwe balaba ku siteegi mukovvu nnyo n’amafiga talina nga wano we baatandikidde okumugoba abaviire.