Kasalabecca

King Saha talabiseeko omutegesi n’acwana

KING Saha talabiseeko e Kyengera ku kivvulu, omutegesi n’acwana. Saha abadde amaze ennaku nga mulwadde era yalabwako ku kivvulu ekimu e Bulenga nga yeegayirira abawagizi bamute ave ku siteegi nga teyeewulira bulungi.

King Saha talabiseeko omutegesi n’acwana
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KING Saha talabiseeko e Kyengera ku kivvulu, omutegesi n’acwana. Saha abadde amaze ennaku nga mulwadde era yalabwako ku kivvulu ekimu e Bulenga nga yeegayirira abawagizi bamute ave ku siteegi nga teyeewulira bulungi.

Kigambibwa nti mu kuziika omugenzi Moses Matovu, Saha enkuba yamukuba n’aggyamu bulwadde. Omutegesi w’ekivvulu kino amanyiddwa nga Omukunja Atasera, yacwanye n’agamba nti Saha teyabadde mulwadde wabula yabadde azannya bubadi bwe.

Wabula abamu, baamunenyezza olw’okubulwa ak’obuntu abalala ne bagusalira Saha mbu wadde yabadde mulwadde naye teyasobola kukunga bawagizi bagende mu kivvulu kino nti waakiri omutegesi afune abantu abangi

Tags: