Kasalabecca

Spice Diana agudde mu bintu

HAJARA Namukwaya amanyiddwa nga Spice Diana, yeeyongedde okwagalwa ssaako okubeera n’ebisima abamu bye bamanyi ng’emikisa. Ge tufuna galaga nga bw’akutudde ddiiru n’ekitongole ky’obulambuzi ekya Uganda Tourism Board.

Evelyn Mic, Spice Diana (wakati) ne Golola Moses) bwe baabadde e Mbale mu kulambula.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

HAJARA Namukwaya amanyiddwa nga Spice Diana, yeeyongedde okwagalwa ssaako okubeera n’ebisima abamu bye bamanyi ng’emikisa. Ge tufuna galaga nga bw’akutudde ddiiru n’ekitongole ky’obulambuzi ekya Uganda Tourism Board.

Kino kyabadde kikuza olunaku lw’obulambuzi mu ensi yonna era Spice Diana yalondeddwa ng’omuyimbi akulembeddemu banne mu bikujjuko bino ebyabadde e Mbale.

Spice okumanya yagudde mu bintu, bakira tebatteng’ana n’omubaka Susan Nakawuki, minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi era abasinga ne bagamba nti amanyi bwe bakwata abagagga.

Spice teyakomye awo era yeeyongeddeyo ne ku Semei Kakungulu Museum okutongoza ekibumbe ky’ebyobulambuzi e Mbale era abawagizi be ne basanyuka okumulabako

Tags: