Kasalabecca

Zari atabukidde abamuyita omukadde

MWAMUWALA (manya omukyala) Zari Hassan, yajaguzza amazaalibwa ge ag’emyaka 46 era akabaga kaabadde mmawa ku wooteeri ya Marriot e Nsambya gye yakategekedde.

Zari bwe yafaananye ku kabaga.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MWAMUWALA (manya omukyala) Zari Hassan, yajaguzza amazaalibwa ge ag’emyaka 46 era akabaga kaabadde mmawa ku wooteeri ya Marriot e Nsambya gye yakategekedde.

Ng’oggyeeko obukwakkulizo obungi obwabadde ku kabaga kano, bassereeebu bangi baakeetabyeko ne bakawa vayibu. Nga bweri enkola ya Bannayuganda, buli omu yatandise okuwa endowooza ye ku buli ekyabadde ku kabaga kano.

Era eky’emyaka gya Zari tebaakibuusizza maaso nga bagamba nti ku 46 gy’ayogera, asazeeko egiwera n’adda ne mu kati ne yeewogoma. Nga Zari bw’ateerya ntama, yabaviiriddeyo n’ababuuza oba ku bonna kuliko nnyina eyafa, gwe yaleka ng’amubuulidde emyaka gye.

Era yeewozezzaako ku ky’okubeera n’envuumuulo z’abavubuka b’azaala abakuze n’agamba nti ye yazaala akyali muto anti abamu bayinza okulaba abaana be nga bakulu ne balowooza mbu naye ayengedde.

Mu lutalo luno, alina b’alangidde obwavu n’okulabika obubi wadde nga beeyita bato mu myaka.

Tags: