Kasalabecca

Aba Sheebah beemulugunya

ABAWAGIZI b’omuyimbi Sheebah Karungi bamusabye akyuse mu nkola ya vidiyo z’ennyimba z’afulumya ensangi zino.

Sheebah
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABAWAGIZI b’omuyimbi Sheebah Karungi bamusabye akyuse mu nkola ya vidiyo z’ennyimba z’afulumya ensangi zino.

Abawagizi bano, beeyita ba ‘Sheebaholics’, abeemulugunya nti omuyimbi waabwe tebakyamutegeera bukya ava mu luwummula lw’okuzaala e Canada.

Mbu kati vidiyo z’ennyimba z’afulumya ensangi zino, zifaanagana ne beebuuza nti obuyiiya bwe yalina bw’adda wa? Baatuuse n’okumusaba akyuse ku dayirekita waazo. Baasinzidde ku vidiyo empya gye yatadde wiiki ewedde ey’oluyimba nga ‘Oteesa Otya’. Mbu terina njawulo na vidiyo ze endala ez’ennyimba nga Stress Killer, Wesibade

Tags: