Kasalabecca

Abtex abuulidde abategesi b’ebivvuluAbtex b’ebivvulu

ABTEX asabye abategesi b’ebivvulu okukomya okutunuulira ssente za Gavumenti, baddemu okukola emirimu gyabwe.

Abtex (wakati) n’abategesi b’ebivvulu abamu.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABTEX asabye abategesi b’ebivvulu okukomya okutunuulira ssente za Gavumenti, baddemu okukola emirimu gyabwe.
Ono agamba nti ennaku zino abategesi b’ebivvulu abamu beesambye omulimu gwabwe era ng’abategeka ebivvulu batono.

Bino yabyogeredde mu lukiiiko lw’abategesi b’ebivvulu abeegattira mu kibiiina kya Uganda Music Promoters Sacco lwe bayiise okusala amagezi ku ngeri y’okutwalamu ekibiina kyabwe mu maaso. Abtex yasoose kwebaza Pulezidenti Yoweri Museveni olw’okutuukiriza obweyamo bwe yawa abategesi b’ebivvulu obw’okuteeka obuwumbi 10 mu bibiina by’obwegassi eby’abategesi b’ebivvulu. Yasooka n’abawaako ekitundu, nga n’ekitundu kyazze era kati abamu bagenda kuzibanja kyokka nga babadde tebakyategeka bivvulu

Tags: