HAJARAH Namukwaya gwe tumanyi nga Spice Diana, ayongedde okukakasa nti wamma ebitaala byamuta, bw’ayingizzaawo ekyuma ekipya.
Mmotoka eno enjeru ekika kya Landcruiser, ebalirirwamu obukadde 800 era yeefaanaanyiriza ziri emmotoka ensajja ezivugibwa baminisita.
Bwe yatuuse nayo ku bbaala ya Supremacy e Nankulabye, yasannyalazza ebyentambula n’emirimu era buli eyabadde alina ky’akola n’akivaako. Era wano abamu baakoze gwa kunyeenya mitwe abalala nga bwe beekuba obwama mbu Spice akola mulimu ki omutuufu mw’aggya ssente ezigula mmotoka ez’ebeeyi!
Ku Range Rover ne Drone kati agasseeko Landcruiser, ekimufudde omu ku bayimbi abakyala abasinga mmotoka ez’ebbeey