Kasalabecca

Biggie Events ekivvulu kimuwuuba

OMUTEGESI w’ebivvulu, Mariam amanyiddwa nga Biggie Events ekivvulu kimwegezaamu ‘okumutta’ ng’enjogera y’ennaku zino bw’eri.

Biggie Events
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUTEGESI w’ebivvulu, Mariam amanyiddwa nga Biggie Events ekivvulu kimwegezaamu ‘okumutta’ ng’enjogera y’ennaku zino bw’eri.

Yaddusiddwa mu ddwaaliro erimu e Kololo ng’embeera etabuse era mwennyini n’ategeeza nti kata obulwadde bumukoleko effujjo nga taba Rashidah Nkuba kumuddusa mu ddwaaliro, singa ali birala nnyo.

Biggie ono, y’ategese Jose Chameleon agenda okusanyusa abantu mu Decembaer era akaliro atandise okukawulira. Ono era ye yategeka, Chamilli bwe yagwa ku siteegi e Lugogo ng’olunaku lw’ekivvulu lutuuse

Tags: