EMYEZI 3 emabega, omuyimbi King Saha yakutula ddiiru ne kkampuni emu ekola amasimu e China emukolere essimu gye yatuuma ‘King’. Eno yagitongozza ku Mmande ku bbaala ye e Nkumba wakati mu nduulu n’emizira.
Egwa mu kika kino ekya ‘seereza’ era yaakukolebwa mu kiraasi ez’enjawulo nga baasoose ne ‘S1’ ng’eriko ekifaananyi kya King Saha. Wakati mu doola okwekanama, essimu eno yasaliddwaako n’edda ku doola 100.