KKOOTI ejulirwamu ekubye eyali muganzi wa Shanitah Namuyimbwa amanyiddwa ennyo nga Bad Black nga ye David Greenhalgh ekkonde, bw’egobye okujulira kwe mw’abadde ayagalira omusuubuzi Meddie Ssentongo amuliriyire obuwumbi 11 bw’agamba nti bwamuweebwa Bad Black ng’abuggya mu kkampuni ye eya Davenshan Development (U) Ltd.
Mu nsala y’omusango eyafulumye ku Mmande, abalamuzi abasatu aba kkooti eno okuli; Eva Luswata, Florence Nakacwa ne Stella Alibateese, baakakasizza nti tewali bukakafu bulaga nti ssente ezoogerwako zaava mu kkampuni ya Davenshan Development (U) Ltd ne zigenda butereevu ku akawunti ya Ssentongo oba nti Ssentongo ye yaziggyayo.
“Kkooti esooka yatuuka ku kituufu bwe yagamba nti tewali kakwate kalaga nti ssente zaava mu mikono gya Namuyimbwa oba mu kkampuni ya Davenshan Development (U) Ltd okugenda ku akawunti ya Ssentongo ey’obwannannyini,” Abalamuzi baakinogaanyizza.
Wadde nga Ssentongo yasingisibwa omusango gw’okwekobaana okulyazaamanya mu kkooti y’abalyake, abalamuzi baagambye nti emisago gyombi tegirina kakwate era nga Greenhalgh yalina okuleeta obujulizi obwessimba obuluma Ssentongo ky’ataakola.
Wadde Bad Black yawa obujulizi ng’alumiriza nti ssente yaziggya ku akawunti ya kkampuni n’aziwa Ssentongo, abalamuzi bano baagambye nti obujulizi bwa Bad Black bwali tebwesigika olw’okukontana mu mboozi z’awaayo ng’alayidde, era yalemwa n’okufulumya obukafu obukwata ssente z’agamba nti yaziwa Ssentongo. Mu bujulizi bwe, Bad Black yagamba nti yawa Ssentongo obukadde bwa doola 3.
Era yakkiriza nti yalimba kkooti ewulira emisango gy’obulyake bwe yagamba nti talina kakwate konna na Ssentongo. Wabula omulamuzi Nakacwa eyakulidde okuwandiika ensala yagambye nti okukontana kuno kwajungulula obujulizi bwa Bad Black.
Wadde okunoonyereza okw’ebitabo kwalaga nti Bad Black yaggyako obukadde bwa doola 3,285, abalamuzi bagambye obujulizi obwaleetebwa mu kooti tebulaga mayitire gaazo.
Entalo zino zaatandika mu mwaka gwa 2012, omwaka Bad Black ne Ssentongo lwe baavunaanibwa emisango gy’okwonoona ssente ezaagambibwa nti zaaggyibwa mu kkampuni ya Davenshan Development. Bad Black ne Ssentongo oluvannyuma baaggulwako emisango mu kkooti y’abalyake era ne gibasinga ne basibwa era ebibonerezo byabwe ne baabimalako.
Wabula Greenhalgh oluvannyuma yabatwala mu kkooti y’ebyobusuubuzi bamuliyirire obuwumbi bwa doola 3 z’agamba nti baazibba mu kkampuni ye.
Oluvannyuma, Greenhalgh yaggyako Bad Black omusango oluvannyuma lw’okukkiriza okuwa obujulizi ng’alumiriza Ssentongo okubba ssento zino. Mu April wa 2015, omulamuzi wa Kkooti Enkulu, Henry Peter Adonyo yagoba omusango guno nga nti tewali bujulizi wabula Greenhalgh n’ajulira