Chameleone akomyewo mu ggwanga. Ono, abadde yagenda kutalaaga amawanga ga Bulaaya gye baamupangisa okuyimba okuli; Bufalansa, Budaaki, Sweden ne Australia. Gye yabadde, yabakubye omuziki era abamu ne basaba anko. Kyokka, ekivvulu kye ekiriyo omwezi ogujja kyatandise okumuwuuba era mbu era ayagala amenye likodi, y’okujjuza Lugogo. Okuva e Bulaaya, yayaaniriziddwa ku ekisaawe e Ntebe mu kiro ekyakeesezza Olwokubiri.
Kkooti